Thursday, July 2
Shadow

Eyali Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavumenti.

Mat14 703x422
Eyali Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavumenti eby’enjawulo naddala abo abali mu kaweefube ow’okulwanyisa Covid 19.
Mu bamu ku baddukiridde kuliko abasawo mu ddwaaliro lya Mityana General Hospital bagabidde enkota z’amatooke 127,obulabirizi bwe Kasaka e Gomba enkota 10,Ebigo ebyenjawulo okuli Banda ne Misigi enkota kumi kumi,Banda Healthy Centre 10,Bujubi Church of Uganda enkota 10,Poliisi ezenjawulo mu Mityana.

Mu ngeri yeemu Nyanzi agabidde ne Gen Kasirye Ggwanga enkota 10 mu ngamwebaza kaweefube gwaliko owokukumira abantu mu nyumba.

Emmere eno ekwasiddwa akulira ebyobulamu Dr.Fred Lwasa Mpijja n’akulira ebyokwerinda Isha Ntumwa.

RDC we Mityana Isha Ntumwa agambye asabye abantu okwongera okubeera abakkakamu mu kaweefube owokulwanyisa Corona.

Abasawo basabye Gavumenti okwongera ku bikozesebwa okuli mask ne gloves mu ddwaliro

 142,801 total views,  541 views today

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll Up