Monday, April 6
Shadow

Rwanda:Omukozi mu kitongole ekigaba obukumi ISCO yekubye essasi nafirawo

Rukundo Jean atemera mu myaka 40, nga abadde akolela ekitongole kya nakyewa ekigaba obukumi ISCO yekubye essasi nafirawo.Bino byaberedde mu disiturikiti ya Karongi, mu bugwanjuba bwe gwanga erya Rwanda,enaku z’omwezi nga 03/03/2020.

Rukondo abadde nzarwa yo mukatundu ka Gitesi,era nga abadde akuma ku banka emu mu disiturikiti ya Karongi.

Omwegezzi wa polisi mu bugwanjuba bwe gwanga, CIP Twizere Karekezi Bonavanture, yayogedde no musasi w’orupapura Igihe, wetusobodde okufuna amawulile gano nakatiriza nga Rukundo bweyekubye essasi nafirawo, ku saawa mukaga n’edakika 45.

Okutuusa kati tekiwali kyamanyikidwa kyona ekisola okuba nga kyaviriddeko Rukundo okwekuba essai nafirawo.Era nga kawefuwe ko kunonyereza akyagenda mu maso.

Kino kidilidde okuba nga mu myezi ebiri egiwedde, baweredde ddala abakozi 2 abamaze okwekuba amasasi n’ebetta. Eyasoka okwetwa yamanyikako amanya nga Audance Ntatinya, oyo ye yekuba essasi mu disiturikiti ya Kicukiro nga yali nzarwa ya mu disitulikiti ya Gicumbi.

src.Igihe.

 

 

 95,422 total views,  199 views today

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll Up